Amawulire

Munnansi wa Congo asindikibwa mukkomera e Luzira lwakufera

Munnansi wa Congo asindikibwa mukkomera e Luzira lwakufera

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Munnansi wa Congo agambibwa okubba sente z’omukolo asindikiddwa mu kkomera e Luzira ajira yebakayo okumala ennaku kumi nanya.

Chubaka Lumumba nga musubuzi e Kabowa mu Rubaga Division wano mu Kampala alabiseko mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Fidelis Otwao amusomedde omusango gw’okufuna ensimbi ng’akozesa olukujjukujju nagwegaana.

Wabula amangu ddala oluvanyuma lw’okwegaana omusango omusango amusindise ku meere e Luzira ajira yebakayo okumala sabiiti biri nga n’okunonyereza bwekugenda mu maaso.

Oludda oluwaabi lugamba wakati wa March ne April 2023 ku William Street wano mu Kampala, omuvunanwa ng’akozesa olukujjukujju yafuna obukadde bw’ensimbi  za Uganda 2.5m ng’alimbalimba nti agenda kukwata omukolo gw’embaga kyatakola.