Amawulire

Munnamteeka wómukampala avunanibwa gwa bufere

Munnamteeka wómukampala avunanibwa gwa bufere

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya Buganda road etaddewo olunaku lwa October 10th 2022 okuwulira omusango gw’obuffere oguvunanwa munnamateeka w’omu Kampala Felix Kintu Nteza.

Nteza ng’awoza ava bweru alabiseko mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Fedelis Otwoa

Kino kidiridde oluvanyuma oludda oluwaabi okutegeeza nti okunonyereza mu musango guno kuwedde.

Kigambibwa pulida Kintu Nteza yafuna sente za Uganda obukadde 195 okuva ku Inter Link Education center nga yeyita kyatali.

Kintu nga munnamateeka okuva mu Kintu Nteza and Company advocates yafuna sente nga yefudde Administrator wa estate ya Kamya George ekitaali kituufu.

Okusizira ku ludda oluwaabi Kintu yajja ku ba Inter Link Education center obukade 195 nga abasuubizizza okubaguzza ettaka e Jimbo Wakiso erisangibwa ku block 220 nga ettaka lino lyamulema okubawa okutuusa leero ekyamuvirako okumukuba mu mbuga z’amateeka.

Omusango yaguzza wakati w’omwaka gwa 2013 ne 2014 ku yafisi ze wano mu Kampala.