Amawulire
Munnamawulire Bakka aziddwayo e Luzira
Bya Ruth Anderah
Munnamawulire eyawummula Rev. Isaac Bakka nate asindikiddwa ku alimanda e Luzira mu Upper Prison kubanga poliisi ekyagenda mu maaso nokunonyereza.
Bakka owemyaka 68 eyali omukozi mu BTN ne Nile FM mu district ye Gulu abadde mu maaso gomulamuzi mu kooti ento e Nakawa.
Munamawulire ono yakwatibwa mu January womwaka guno ku paaka ya taxi e Mukono abanatu abatategerekeka, wabula oluvanyuma naletebwa mu kooti e Nakawa nasomerwa emisango gyokulya mu nsi olukwe.
omusango gwongezeddwayo nga April 11th 2018.