Amawulire

Munnamateeka wa Kitatta bamugobye mu kooti

Munnamateeka wa Kitatta bamugobye mu kooti

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omu ku banamteeka bomuyima wa boda boda 2010 Abudalla Kiatta, bamugobaganyizza wabweru wa kooti olwokweyisa mungeri etagasa.

Kino kidiridde munamateeka ono Jimmy Muyanja okukuba emmeeza, bwakayukidde omuwaabi wemisango Maj. Rapheal Mugisha, ngamulumiriza okutemya ku mujulizi Richard Kasaijja, mungeri yokumuyamba ku kyokuddamu.

Mungeri yeemu kooti yamagye etuula e Makindye egobye okusaba kweyali omuyima wa Boda-boda 2010 Abdullah Kitatta okuleeta ebifananyi bya CCTV ku woteeri webwamukwatira e Wakaliga  ngobujuliz bwe.

Ssentebbe wa kooti eno Lt. Gen Andrew Gutti agobye okusaba kwa banamateeka ba Kitatta, ababadde bagamba nti tebamusanga na mundu.

Gen Gutti agambye nti ebya camarea tebyali mu bujulizi bwa Richard Kasaijja, omujulizi eyasooka okulumiriza Kitattae.

Banamateeka ba Kitatta nga bakulembeddwamu Shaban Sanywa bakulungudde ssaawa 4, ezekutte nga bakuba ebituli mu bujuizi bwoludda oluwaabi.

Kitatta ne banne abalala 12 bwebavunanibwa babadde ku alimanda ku nkambi yamagye e Makindye okuviira ddala January womwaka guno, ku misango gyokusangibwa nebissi mu bukyamu.