Amawulire

Munnamateeka mu musango gwokutta Kirumira agenda mu Kkooti ejjulirwamu

Munnamateeka mu musango gwokutta Kirumira agenda mu Kkooti ejjulirwamu

Ivan Ssenabulya

February 10th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Munnamateeka w’omusibe eyejjerezebwa ku musango gw’okutta eyali omusirikale wa Poliisi Muhammad Kirumira, agamba nti agenda kujulira mu Court ng’ayagala omusibewe Abubakar Kalungi ayimburwe awatali wadde akakwakulizo.

Kalungi yakwatibwa era naggalirwa nga 23/11 2022 ku Court Enkulu mu Kampala, amangu ddala ng’omulamuzi Marget Mutonyi amaze okumwejjereza emisango.

Zimbe Zefania munnamateeka wa Kalungi agamba nti omuntuwe yakwatibwa abantu abaali banekedde mu ngoye ezabulijjo nga bano baali batambulira mu drone era ne bamutwala mu kifo ekitategeerekeka.