Amawulire

Munnamateeka Bob Kasango bazeemu okumukwata

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti ewozesa abalyake Margaret Tibulya alagidde abaali abakozi mu ministry yabakozi 3 okuli eyali omuwanadiisi owenkalakalira Jimmy Lwamafa, eyali omubalirizi webitabo omukulu Christopher Obey ne Commissioner Stephen Kiwanuka Kunsa saako ne munamateeka Bob Kasango nti balina emisango egyokwewozaako.

Abantu bano 3 waddenga abamu basingisibwa emisango era bali mu makomero, baliko era emisango emirala egyobuli bwenguzi gyebakyawerenemba nagyo.

Omulamuzi agambye nti oluvanyuma lwokwekenneya obujulizi obuleteddwa, akizudde nga bano balina omusango.

Mu musango guno bavunanibwa okufiriza gavumenti obuwumbi 15, ensimbi ezaali ezakasiimo.

Abasattu baweebwa ebibonerezo okusibwa emyaka 7, 10 nemyaka 5 okujingirira ebiwanadiiko nebalaganga bwebaterekanga akasiimo kabakozi mu NSSF ka buwumbi 88, meungeri eyobufere.

Kati omulamuzi  Tibulya era asazizaamu okweyimirirwa kwa munamateeka Bob Kasngo, ngamusindise ku alimanda e Luzira okutukira ddala nga 20th lwebanakomezebwawo.