Amawulire

Munnamateeka awawabidde Gavt ku mbeera zábasirikale ba poliisi

Munnamateeka awawabidde Gavt ku mbeera zábasirikale ba poliisi

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulwanirizi weddembe munnamateeka Steven Kalali awabidde ssabawolereza wa gavumenti kumbeera embi abasirikale ba polisi mwebawangalira.

Mu kiwandiiko kye, Kalali agambye nti ekyokugatta famile bbiri okusula munju emu kimalako abantu eddembe lyabwe okukola bye bagala.

Ono era agamba nti bweyakyalirako Police Barracks eyé Jinja, Nsambya, Ntinda/Naguru, ne Mbale, yakizuula nti abasirikale ba poliisi ne famile zabwe basuzibwa mu butenti oba obuyumba bwobudoongo obutasaana kusuzibwamu bantu.

Kati Kalali ayagala kkooti erangirire nti ekikolwa kya gavt okusuza abasirikale ba poliisi obubi mu buyumba obutonya ate nga tebuli ku mutindo kimenya mateeka.