Amawulire

Munnakatemba Kato Lubwama afudde

Munnakatemba Kato Lubwama afudde

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyaliko omubaka wa Palamenti akikirira aba Rubaga South, era munnakatemba era omuyimbi, Kato Lubwana mukama amujjuludde mu bulamu bwensi eno.

Okusinziira ku pulomoota w’ebivulu Andrew Mukasa, aka Bajjo, Kato afudde ku ssaawa nga 9 nga bukya mu ddwaaliro lya Stana Medical Center e Bunnamwaya gye baamuddusizza oluvannyuma lw’okulwala omutima.

Okufa kwe era kukakasiddwa addukanya omukutu gwe ogwa twitter.

Abadde mukozi munne ku leediyo yóbwakabaka bwa Buganda, CBS, Abby Mukiibi agamba nti talina bigambo bya kwogera ku Kato katonda gweyali yawa ebitone ebiwerako.

Ono amaze ebbanga ng’alwanagana n’obulwadde era ng’atwalibwako n’ebweru w’eggwanga okwongera okwekebejjebwa n’okujjanjabibwa.

Kato yaweereza mu palamenti ey’ekkumi nga tannafiirwa kifo kino eri omubaka ali mu ntebe, Aloysius Mukasa mu kulonda kwa 2021