Amawulire

Mumbuulire abagaba ssente mu kalulu- Kaliisoliiso

Ali Mivule

December 7th, 2015

No comments

Kaliisoliiso wa gavumenti asomozezza abantu bonna abalina amawulire ku bannabyabufuzi abagulirira abalonzi bagaweeyo eri poliisi babanonyerezeko.

 

Bino webijidde nga waliwo okwemulugunya ku bannabyabufuzi abagulirira abalonzi n’ebintu ebikalu wamu n’ensimbi nga betegekera akalulu ka 2016.

 

Kati kaliisoliiso  Irene Mulyagonja  agamba yadde nga wabaddewo okwemulugunya mu mikutu gy’amawulire tewali kuloopa kutongole kwakoleddwa kale nga kizibu okubalondoola.

 

Agamba kati ofiisi ye yakukwatagana n’ebitongole bya gavumenti ebirala okulwanyisa obukenuzi.