Amawulire

Mulwanyise obukubagano mu maka-Nabagereka

Ali Mivule

March 18th, 2014

No comments

Nabagereka and chin

Nabagereka wa Buganda Maama Sylvia Nagginda asabye abakyala okwongera okwegatta mu kulwanyisa ebikolwa ebityoboola eddembe lyaabwe.

Maama okusaba kuno akukoze atongoza Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda ku pope Paul hotel mu Kampala.

Nabagereka agambye nti abakyala balina okwerwanako naddala ku bikolwa eby’obutabanguko mu maka, okusobya ku baana wamu n’obwavu.

Nabagereka era asabye wabeewo obwenkanya mu kugabana eby’obugagga mu maka naddala ensimbi eziva mu bulimu kubanga abakyala beebasinga okwenyigira mu bulimi mu maka.