Amawulire

Muleya asambaze ebimwogerwako

Muleya asambaze ebimwogerwako

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Eyali akulira kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines, Cornwell Muleya asambazze ebigambibwa nti yajeemera biragiro bya Kaliisoliiso wa gavt.

Muleya mukwewoozako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Asuman Muhumuza, agambye nti yafuna ebbaluwa ku email ye etaliiko muntu agisindise yadde ennamba ye simu songa era tebamulagirako kugenda napasipootaye

agasseeko nti olw’okuba yali mugwira yalagira looya we okunoonyereza ku butuufu bwe bbaluwa gyeyafuna ku meyilo.

Muleya ayongedde okwebuuza lwaki IGG yaasalawo okumuyita ngaayita ku meyilo kyokka nga bamanyi w’abeera.

Omulamuzi abadde akubiriza omusango guno agwongezaayo okutuusa nga October 28th 2022 lwaliwa ensalaye.

Okusinziira ku kitongole kya Kaliisoliiso wa gavumenti, baayita Muleya okweyanjula anoonyerezebwe ku bigambibwa nti yakozesa bubi yaffeesiye, ne ensimbi za gavumenti mu kugula ebintu n’okuwandiika Abakozi mu kampuni ya Uganda Airlines, naye n’agaana okugondera ebbaluwa emuyita ate natawa nsonga.