Amawulire

Muleya alabudde kubyokufuna amagoba mu Uganda Airlines

Muleya alabudde kubyokufuna amagoba mu Uganda Airlines

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali akulira kkampuni y’ennyonyi eya Uganda National Airlines, Cornwell Muleya alabudde nti Bannayuganda bakwerabira kkampuni yennyonyi ey’eggwanga okukola amagoba okutuusa nga wabaddewo enkyukakyuka nokuteeka munkola pulaani eyabagibwa nga kampuni eno ezukizibwa.

Okulabula kuno akukoze bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bikolebwa mu bitongole bya Gavumenti aka COSASE gyabadde ayitiddwa okwanukula ebibuuzo ebyabuuziddwa mu lipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti.

Okulabula kwa Muleya akukoze oluvanyuma lwe ekibuuzo ekibuuzibwa omubaka w’essaza ly’e Buzaaya Martin Muzaale, okunnyonnyola lwaki kkampuni y’ennyonyi y’eggwanga efiirwa obutitimbe bwensimbi

Muleya yali yapangisibbwa Gavumenti ngomuwi wa magezi okuzuukiza kkampuni y’ennyonyi eno eyali yakoma okola emyaka mingi emabega.