Amawulire

Mulekere awo okwambula abakyala- Katikkiro

Ali Mivule

March 6th, 2014

No comments

Katikkiro kisekka

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde nti wabeewo ekkomo ku bikolwa by’okwambula abakyala.

Bw’abadde ayogerako eri nasiisi w’omuntu ku katale ke wa kiseka, kamalabyonna agambye nti ekikolwa kino kiweebula abakyala era nga kirina okukoma mbagirawo.

Agambye nti abasajja abakola kino bagweenyufu nnyo n’okusingako abambala enkunamyo

Agambye nti mu nnono ya Buganda kikyaamu okwambula omukyala era nga abakikola kikome

Kamalabyonna olwaleero lw’alabudde abasuubuzi mu kibuga nga yasoose ku Paaka yaadi, mu kikuubo, ewa Kisekka ng’afundikiridde Nakivubo mu kisaawe.

Ensimbi eziweza obukadde 200 zeezikunganyiziddwa okuva mu basuubuzi bano ng’ettofaali lyaabwe okuzzaawo amasiro ga bassekabaka agasanaawo mu muliro.