Amawulire

Mulangirire ebivudde mu kunonyereza ku ttemu

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

Mubajje

Mufti Wa Uganda  Sheikh Shaban Mubajje asabye ebitongole ebikuuma ddembe ebinonyereza ku kuttibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga okulangirira byebazudde mu lwaatu.

Sheikh Mubaje agamba kino kyakuyamba okuleetawo obukkakkamu  n’okulaba eky’okukola oluvanyuma .

Mubajje agamba okuttibwa kw’abamaseeka kusajjudde enjawukana mu basiraamu kale nga singa kino tekikoma enjawukana mu basiraamu zandisajjuka.

Abasiraamu bangi bazze bavumirira okuttibwa kwa bannaabwe nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.