Amawulire

Mukyakala wa Col Ndahura adukidde mu kooti.

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Mukyala w’eyali akulira ekitongole ky’abambega ekya crime intelligence mu police nga ono oye Col Atwooki Ndahura adukidde mu kooti enkulu nga ayaggala baawe atwalibwe mu kooti oba ayimbulwe  mu bwangu.

Sarah Ndahura  nga ayita mu banamateekabe aba Ochienge Associated Advocates , batutte ekiwandiiko  mu kooti ekikaka  CMI okuleeta Nduhura mu kooti nga mulamu oba nga mufu.

Kati bawawaabidde  kuliko munamateeka wa government, ekitongole kya, CMI, ssaapolisi, kko n’aduumira amajje ga UPDF.

Kinajukirwa nti Ndahura  yoomu kubantu 26  okuli abaserikale, n’abajaasi abaakwatibwa awamu ne Gen Kale Kayihira , era nga nakaakano tebalinyangako mu kooti.