Amawulire

Mukono: Aba boda boda balwanye

Mukono: Aba boda boda balwanye

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Mukono yayitiddwa okutaasa abagoba ba bodaboda ku siteegi ye Bishop Stage, ababadde balwana.

Bano ekyabatakudde okulwana, ye defensi wa siteegi eno okukwata omu ku bagoba ba boda, aabtalina siteegi oba ekifo ekyenkalakkalira webakolera bebakazako elra lubyanza natwala ne piiki piiki ye.

Bano balangide abakulembe baabwe olwokweyagaliza nokubasabanga sente enyingi okubawa siteegi, ekibavirako okwewala siteegi.

Bagambye nti siteegi ze’Mukono babasaba wakati wemitwalo 30 ne 60, zebateyinza.

Ye Mukwaya Ronald nga ye defensi gwebalumiriza okukwata munaabwe atutegezeza nga bano bwesuuse okusiwuka empisa nga kwotade nokubba abasabaze bebasabza.