Amawulire

Mukomye okutema emiti

Ali Mivule

April 10th, 2014

No comments

floods fresh 2

Eggwanga lyolese okwongera okufuna ebibamba ssinga tewaliiwo kikoleddwa kutaasa buttonde bwa nsi.

Minisita akola nsonga z’ebibamba, Hillary Onek agamba nti abantu bangi bakyasala emiti egyandikutte ku mbuyaga  kale nga buli lw’ejja eyera buli by’eyitako.

Onek agamba nti keekadde abakulembeze ku mitendera gya wansi okukwatizaako gavumenti mu kulwanyisa ebintu ng’amataba n’embuyaga eyera buli kimu

Onek bino abyogedde alambula e ggombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono ng’eno abantu okuva mu maka nga 20 tebasigazza kantu.