Amawulire

Mukole ku bizibu ebiruma abantu

Mukole ku bizibu ebiruma abantu

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abalondoola nokutaputa ebyobufuzi bawabudde abavuganya gavumenti, okuvaayo namakubo aganayamba abantu awamu ku bizibu ebibatawaanya.

Kino bagamba nti kyekisaanye okukolebwa, mu kifo kyokutondawo ebisinde.

Eyali akulembera FDC, era eyavuganyako ku bukulembeze bwegwanga Dr Kizza Besigye yatonzeewo ekisinde “People’s Front for Transition” (PFT) nga bagambyenti nti balina ekigendeerwa okununla egwanga nokujjako pulezidenti Museveni ngomwaka gwa 2026 tegunatuuka.

Dr. Besigye waakumyukibwa Lord Mayor wa Kampala, Erias Lukwago.

Bangi baliko byebogedde ku kisnde kino, ngabamu ku babaka ba palamenti betemyemyu ku nsonga eno.

Wabula bweyabadde ayogerako naffe Amb. Harold Acemah agambye nti ekisnde kino tekigenda kuberera, era kiyinza obutatauuka ku birubirirwa byakyo.

Agambye bwebaba nga ddala bagala okwegatta, basaanye okukolera awamuku nsonga eziruma abantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *