Amawulire

Mujib Alekulidde

Ali Mivule

May 8th, 2014

No comments

 

FUFA new logo

Abadde akulira ebyekyekugu mu FufaMujib Kasule alekulidde.

 Mujib okulekulira kizze oluvanyuma lwa tiimu ye eya Proline okusalwako okuva mu league ya babinywera wiiki  ewedde.

 Omwogezi wa Fufa Hussein Ahmed ategezezza nga bwebafunye ebbaluwa ya Mujib ey’okulekulira wabula nga bagenda kutunulira ensonga eno nga akakiiko oluvanyuma bavaaye nekyenkomeredde.

 

Hussien ategezezza nga mukiseera kino Fufa teyagala kutataganya nkambi ya Cranes nga yetegekera omupiira gwa Madagascar mu mpaka z’okusunsulamu abanetaba muza Africa omwaka ogujja naddala nga Mujib akulira ebyekikugu bwasalawo okulekulira kussaawa eno.