Amawulire

Muhwezi aganze mu kooti

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali minister webyamawulire Rt.  Maj. General Jim Muhwezi addukidde mu kooti enkulu okuwakanya, ekyokumugoba ku ttaka erisangibwa ku Kyadondo block 273, Kyamula-Salaama mu divison ye Makindye.

Muhwezi  ayise mu munamateeka we Ahmed Mukasa Kalule, okutuusa ensonga ze mu kooti.

Muhwezi agamba nti ye nanayini ttaaka omutuufu nga yaligula ku William Hitmana mu 1995 ngera abadde atudde ku ttaka lino emyaka 23 okutuusa jjolyabalamu, ba wanyondo ba kooti  ababadde bakulembeddwamu James Mubiru lwebamulumbye okwonoona ebintu bye.

Okusinziira ku MUBIRU kigambibwa nti minister Muhwezi yafuna ettaka lino mu bukyamu, era mungeri ya mankwetu songa bino byabugagga bwe ebyamulekerwa George Ssekajjugo.

Wabula Muhwezi agamba nti okumugoba tekyabadde mu mateeka nga wakyaliwo omusango ogugenda mu maaso mu kooti.

Kati omusango gwa Jim Muhwezi gwakuwulirwa olunnaku olwenkya mu maaso gomuwandiisi wa kooti Deo Nzeyimana.