Amawulire

Muhamad Kirumira alekulidde Police ya uganda.

Ivan Ssenabulya

January 31st, 2018

No comments

Bya  Ssebuliba samuel.

Tutegeezeddwa nga abade adumira police ye Buyende Muhammad Kirumira bwasazeewo okulekulira, nga agamba nti abakulu mu Police basusse okumuyiganya.

Kinajukirwa nti omwezi guno nga gwakatandika police yaggula emisango 6 ku Kirumira kyoka nga mikadde.

Emisango egy’ogerwako kigambibwa nti kirumira yagizza bweyali nga akyali Nansana mu mwaka 2013 ne Old Kampala mu 2014.

Kati ekiwandiiko kirumira kyatuwadeko, agambye nti okuva lweyayingira police abakulu baludde nga bamuyigga, songa okulwanyisa obumenyi bw’amateeka abadde akukola nga talina buyambi bwa police.

Kati ono agamba nti ye nga omuserikale omutendeke tagenda kulinda kifananyiikye  kugwaawo, kwekusalawo okudako ebali  akola ebiyamba egwanga erinamusiima.

Kati ono ategeezeza nga bwagenda okulinda kooti emale okuwozesa, bwamala asabe okulekulira afuke Muntu wabulijjo.