Amawulire

Mugabe alabiseeko mu lujudde olwaleero

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Omukulemebeze we gwanga lya Zimbabwe eyawambiddwa amagye alabiseeko eri egwanga mu lujudde omulundi ogusookedde ddala bukyanga amagye gamuzingako, ku Lwokusattu lwa wiiki eno.

Ono alabidwako ku mukolo ogwokutikira abaana ogubadde mu kibuga kye gwanga ekikulu Harare.

Wabula tabadeeko bukuumi bwamaanyi, nga bwekibaddenga kitera okubeera songa era tawerekeddwako yadde mukyala we newankubadde minister webyenjigiriza.

Mukaseera kano Mugabe azidwaayo mumaka gobwa president wabula nga amagye gagamba nti bakyateesa naye okulaba nga akiriza yesonyiwe obuyinza mungeri ya mirembe.