Amawulire

Mufti wa Uganda y’akulembeddemu okuvumira okutulugunya abantu

Mufti wa Uganda y’akulembeddemu okuvumira okutulugunya abantu

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba, Ndaye Moses, Ivan Ssenabulya, Magembe Ssabiiti ne Opio Sam Caleb

Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramadhan Mubajje ayambalidde ebitongole ebikuuma ddembe, navumirira eryanyi erisukiridde lyebakozesa ku banansi abekalakaasa.

Bino abyesigamizza ku bwegugungo obugenda mu maaso mu gwanga, nga buwakanya okukwatibwa kwababaka ba palamenti.

Bwabadde akulembeddemu okusaala Eid Aduha Muzikiti omukulu ku Old Kampal, Mufti Mubajje aambye nti okutulugunya okuliwo tekugwanidde.

Wano era asabye nabantu okulaga obutli bumativu bwabwe, mu mirembe obutakosa bantu balala.

Mu buufu bwebumu, akulira ekiwayi kyabasiraamu aba-Tablique mu gwanga Amir Ahamed Kassujja naye asabye ebitongole bya gavumenti ebikuuma ddembe bikomye okutulugunya abantu.

Sheik Kassujja bino abyogeredde mu kusaala Eid-Adduha ku ku Nakivubo Blue P/S mu Kampala.

Agambye nti kimalamu amanayi okulabanga, abalina okukuuma eddembe lyabantu ate bebalirinyirira.

Wano era asabye gavumenti okutwala eyali omuddumizi wa poliisi mu mbuga, mu kifo kyokumuggaliranga awatali musango nti gwegugwo ogumuggudwako.

Ate Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago azeemu okukuba omulanga, eri gavumenti nomukulembeze we gwanga okukiriza wabeewo okukyusa obukulembeze mu mirembe.

Bwabadde ayogera ne banamwulire, oluvanyuma lwokusaala Eid e Kibuli, Lukwago agambye nti kino kyekijja okutebenkeza egwanga kyokka.

Ono agambye nti obubaka bwe ku Eid eno, kwekerekereza bwetwagala ennyo.

Bino webijidde nga mu gwanga waliwo obwegugungo okuyimbila omubaka Kyagulanyi nababaka abalala, abakwatibwa mu kulonda kwomubaka wa munispaali ye Arau.

Ate e Mukono, ku muzikiti omukulu gavumenti esabiddwa okwewala okutyoboola eddembe lyobuntu.

Babadde akulembeddemu okusaala Sheikh Ismail Kakumba okuva ku Supreme Council, agambye nti kikyamu okutulugunya abali ku ludda oluvuganya gavumenti.

Ente eziweredde ddala 5 zezisaliddwa oluvanyuma lwo’kusala.

Ssentebbe womuzikitu guno Feffeka Sserubogo yanyonyodde

Ate e Kamuli abasiraamu basabiddwa okukulembeza emirembe nokutabagana.

Buno bubadde bubaka bwa district Khadhi Sheikh Ismail Kazibwe mu kusaala Edi.

Kazibwe naye avumiridde biri mu gwanga ebyokwegugunga nengeri poliisi gyekwatabamu abantu.

Ono asabye wabeewo engeri eyemirembe okugonjoola obutakanya.

Yyo e Mubende, ku Muzikiti omukulu, okusaala kukulembeddwamu Sheikh Bashir Abubakar.

Ono avumiridde ekyaakuuma ddembe okukubanga nebanamawulire nga bakola emirimu gyabwe.

Agambye nti embeera etabanguse obwegugungo obutataliza ne banwmulire, nga kikyamu nnyo.

Eno okusaala kwetabiddwamu Ssentebbe wa district Francis Kibuuka Amooti.