Amawulire

Mufti Mubajje avumiridde obulumbaganyi ku Bayizi e Kasese

Mufti Mubajje avumiridde obulumbaganyi ku Bayizi e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Olunaku olwaleero Abasiraamu wonna munsi lwebakuziza Iddi eyókusala ebisolo.

Ku muzikiti gwa Gadafi ku Old Kampala okusaala kukulembedwamu Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Mubajje.

Bwabadde awa obubakabwe obwa iddi, Mubajje avumiridde obulumbaganyi bwa bayekera ba ADF obwakolebwa e Kasese,

Ono mungeri yemu ayaniriza ekya palamenti okuyisa etteeka rya Financial Institutions Amendment Bill 2023, nagamba nti lyakuyambako mu kutondawo banka yóbusiraamu.

Ono era avumiridde entalo ezitaggwa ezigenda mu maaso mu mawanga agenjawulo n’asaba amawanga agebweru okuyambako mu kutumbula emirembe.