Amawulire

Mufti Mubajje asabye abasiramu okusabira emirembe nóbumu

Mufti Mubajje asabye abasiramu okusabira emirembe nóbumu

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Olunaku lwaleero abairamu okwetoloola ensi yonna bali mu kujaguza Eid-el-fitr olunaku olukomekereza ekisiibo kyomwezi omutuvu ogwa Ramadan.

Okusaala Eid kutandise ku mizikiti ne bisaawe ebyenjawulo mu ggwanga ekya ya leero.

Ku muzikiti gwa Gadaffi e Kampala mukadde, Mufti Sheikh Shaban Ramathan Mubajje, akubiriza abasiramu okusabira emirembe nóbumu mu ggwanga.

Mu bubakabwe Mubajje asabye abasiramu era okusabira amawanga ga bawarabu agali mu butabanguko

Mungeri yemu asabye abasiramu okwetoloola eggwanga lyonna okwegatta babe bumu kwe bajja okutuuka kunkulakulana.