Amawulire

Mu kenya abyava mu kulonda bisubirwa leero.

Ivan Ssenabulya

October 30th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Mu  Kenya  akakiiko k’ebyokulonda kategeezeza  nga olwaleero  bwekagenda kulangirira  ebyavudde mukulonda kw’obwa president .

Amyuka akulira akakiiko kano Consolata Nkatha agambye nti kumasaza 7 agabadde gatanaleeta byava mukulonda webukeeredde nga mukaaga galeese, kale nga wabulayo esaza limu lyokka

Yye ssentebe w’akakiiko kano Wafula Chebukati  agamba nti bamaze okwekeneenye abyavudde mu masaza 259  ku  265  nga kuno ogaseeko n’abalondedde ebweru we gwanga.

Kati ono agamba nti leero nga telunaziba banna-kenya bagenda kuba bategedde omukulembeze wabwe.

Ebyakava mukubala biraga nyi Uhuru Kenyatta alina obululu  obukadde  musanvu mu emitwalo anna, songa yye munne Raila Odinga alina obululu emitwalo musanvu bwokka