Amawulire

Mpuuga mwenyamivu olwa Gavt okukuumira Babaka banne mu Kkomera

Mpuuga mwenyamivu olwa Gavt okukuumira Babaka banne mu Kkomera

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omukulembeze w’oludda oluvuganya, Mathias Mpuuga avuddeyo n’alaga obweraliikirivu olwababaka bannabwe 2 okusigala nga bakuumibwa mu kkomera asabye omusango gwabwe gulamulwe mu bwangu.

Olwaleero guweze omwaka mulamba bukya omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana ne munne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North bakwatibwa ne baggalibwa.

Aboludda oluvuganya baludde nga bagoberera omisango egyavaako ababaka bano okuggalibwa nga bagala baweebwe obwekanya ne banabwe abalala bwebasibibwa.

Bwabadde ayanjula ekiwandiiko ekikwata ku mbeera ya babaka bano eri palamenti akawungeezi ka leero, Mpuuga avumiridde gavumenti olw’okugenda mu maaso n’okusiba abantu bano awatali kuwozesebwa kyayise akagenderere basobole okutulugunyizibwa.

Mpuuga agamba nti wandibaawo ekoobaane ababaka bano okukuumibwa mu mbuziekogga awatali kuwozesebwa ekikontana ne ssemateeka.

Mu kumwanukula sipiika Anita Among asabye gavt eyanguyirizeko okuwozesa ababaka bano basobole okufuna obwenkanya.