Amawulire

Mpuuga asomoozeza Nabbanja

Mpuuga asomoozeza Nabbanja

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga alumirizza Ssaabaminisita Robinah Nabbanja okweteeka mu butaala mu ngeri gy’akwatamu emirimu gya gavumenti.

Mpuuga okwanukula kiddiridde olunaku lumu nga Nabbanja akyalidde eddwaliro ly’e Kawolo mu disitulikiti y’e Buikwe, okunenyezza ab’oludda oluvuganya gavumenti okukuma omuliro mu bakozi b’ebyobulamu okwediima.

Akeediimo ka basawo mu ddwaliro e Kawolo katandika ku Mmande entebwe eyava ku musaala gwabwe ogwe myezi 3 okutabalabikako mu budde.

Mukwogerako ne Bannamawulire ku palamenti, Mpuuga alaze obwenyamivu kungeri Ssabaminisita engeri gye yetwalamu naamusaba okufako ku bizibu ebiruma abantu mu kifo kyókwogera ebitasaana.

Mpuuga asomoozeza Nabbanja okumwegatako kungendo zaliko ezókwebuuza ku balonzi.