Amawulire

Mpuuga akuutidde abavubuka

Mpuuga akuutidde abavubuka

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulembeze w’oludda oluvuganya mu palamenti, Mathius Mpuuga asabye abavubuka abali mu bibiina by’obufuzi eby’enjawulo, okubuuza abakulembeze baabwe ku biseera by’eggwanga lino eby’omu maaso.

Bino yabyogedde mu kuwa obubakabwe ng’omugenyi omukulu ku mukolo gw’okutongoza ekibiina kya Multiparty Youth Forum mu Kampala.

Mpuuga agambye nti abavubuka bangi batya okusisinkana abakulembeze baabwe mu byobufuzi okubannyonnyola ekirooto kyabwe eky’okukulaakulanya eggwanga lino ekireka bangi nga bakola ebintu ebikontana n’enteekateeka z’ebibiina.

Bw’atyo ategeezezza nti buvunaanyizibwa bw’abavubuka okusaba abakulembeze b’ekibiina byabwe okumanya bye balina eri ekibiina ne kye bayinza okukola okuleeta enkyukakyuka obutereevu mu mbeera z’abantu n’ebyenfuna.

Mungeri yeemu Mpuuga yakubirizza abavubuka okukolera awamu n’okuzimba ekibiina kya Multiparty Youth Forum okusobola okutuukiriza ebigendererwa byakyo ebikulu