Amawulire
Mpigi: Abaali bawambibwa abalala bazuuse
Bya Sadat Mbogo
Abantu abalala 3, abaali baabuzibwawo mu January omwaka guno okuva mu bitundu by’e Buwama mu disitulikiti ye Mpigi bazuuse.
Bano kuliko Ronald Mugerwa nnanyini Jazz African Motel esangibwa e Mitalamaria, Fred Kijjambu owa Buyaaya Glass Mart mu kabuga k’e Buwama ne Victor Makenya omutuuze w’e Jalamba mu tawuni kanso ye Buwama.
Kati bano beegasse ku banaabwe abantu 4, abasuulibwa mu kiro ekyakeesa Olwokutaano wiiki ewedde, okwali eyawangula ekifo ky’obwa meeya wa Buwama Town Council Abdul Rashid Nkinga, Baker Kawooya, Emmanuel Bazira ne Muhamaddi Ssekimpi.
Abasatu abazuuse basuuliddwa mu kitoogo kya Kalandazzi omulala nebamusuula okumpi n’ekigo ky’abakatoliki e Mitalamaria ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Bonna kati batwaliddwa mu ddwaliro ly’e Nkozi okwekebejjebwa n’okufuna ku bujjanjabi.