Amawulire

Mondo Kyateka ayagala abazadde okuzuukiza “Ekyooto” mu maka

Mondo Kyateka ayagala abazadde okuzuukiza “Ekyooto” mu maka

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisitule ey’ekikula ky’abantu, abakozi n’okutumbula embeera z’abantu esoomoozezza ebitongole by’ebyobuwangwa okwetoloola eggwanga okuzuukiza Ekyooto ne kigendererwa ekyókutambuza eby’obuwangwa.

Bino byogeddwa kaminsona avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu Mondo Kyateeka ku mukolo gw’okugaba ebirabo eri abavubuka abakoze obulungi mu kutumbula obuwangwa obwabadde ku Uganda Museum.

Kyateeka yagambye nti minisitule ekola bukubirire okuzzaawo enkola ye Kyooto ,okutondawo omukutu gw’okugabana empisa n’emisingi gy’obuwangwa okuva ku mulembe omukadde okutuuka ku mulembe omupya