Amawulire

Minister Jane Ruth Achenge ayitiddwa kubya Kinyenyamutwe.

Ivan Ssenabulya

March 14th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Omumyuka wa  sipiika wa  palamenti ye  gwannga Hon Jacob Oulanyah alagidde minister akola ku by’obulamu okujja leero mu palament  anyonyole egwangga ku bikwatagana n’ekirwade kya kinyenya mutwe mu butingole.

Kinajukirwa nti gyebuvudeko minister akola ku by’obulamu Jane Ruth Achenge yayita banamawulire nabategeeza nga ekirwadde kino bwekiwedeyo mu mamabuka g’egwanga , era nga enaku zino mpaawo akyakwatibwa bulwadde  buno omupya.

Wabula olunaku lw’egulo  amyuka speaker yagambye nti kino tekimala , minister alina okujja mu paraliment abategeeza mubutongole byebaazula, kubanga byandiba nga tebimatizza