Amawulire

Minister akunyiziddwa ku by’okuggala amasomero.

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

 

Parliament esabye ministry ekola ku by’enjigiriza okuteeka munkola amateeka agafuga amasomero mungeru y’obwenkanya, waleme okubaawo okusosola wakati waago aga government  ko nag’obwananyini.

Kuno okusalawo kugidde mukadde nga  banyini masomero ag’obwananyini bakukuluma olwa government okuggala amasomero gaabwe geegamba nti tegalina bisaanyizo, kyoka nga  aga government  aggali mu mbeera yeemu ggo gakola.

Bweyabadde asooma alipoota ku nsonga eno akawungezi akajjo, minister  omubeezi akola ku by’enjigiriza Dr. John Chrysostom Muyingo agambye nti sikituufu nti amasomero agaggalwa malondobemu, kubanga amateeka bwegagamba.

Wabula  ye omumyuka wa speaker wa parliament Jacob Oulanya  yasabye minister okugenda mu maaso nekyakola kubanga kuno kugogola byanjigiriza, wabula kino kikolebwe mungeri yabwenkanya.