Amawulire

Minista wabavubuka alabudde ku kwekalakaasa

Minista wabavubuka alabudde ku kwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minister omubeezi owekikula kyabantu, owabavubuka Owek Florence Nakiwala Kiyingi asabye abakyala nabavubuka okwewala okwenyigira mu bikolwa ebyokwekalakaasa.

Bino webijidde ngabantu okuli nabakyala balabwako nga bakubibwa mungeri enkyamu, mu bwegugungo bwa Free Bobi.

Kati bwabadde ayogera ne banamwulire ku Media Center mu Kampala mu kwetegekera olukungaana lwabakyala olwa Annual World Women Conference olwomulundi ogwokubiri  olunabaawo nga 31st August, minister agambye nti abantu bagwana okwenyigira mu mirimu egigasa.

Wano era alaze obumalirivu bwa gavumenti , okuwagira abakyala nabavubuka nebibinja byabantu abenjawulo mu kikula kyabwe, babeeko webatuuka okwekulakulanya.