Amawulire

Minisitule esambazze ebyokuggulawo amasomero

Minisitule esambazze ebyokuggulawo amasomero

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, evuddeyo okusambajja amawulire agayitingana, agakwata ku kuggulawo amasomero.

Amawulire mu mpapula galaze nti, amasomero gagenda kuggulawo, mu wiiki 2.

Bano babadde balina abakungu bebesigamyeko okuva mu minisitule yebyenjigiriza, nga bagambye nti bagendakutandika ne P1 okutuuka ku P3 nabayizi aba S1 ne S2.

Kati bwabadde ayogera ne bannamwulire mu Kampala, omwogezi wa minisitule Denis Mugimba, agambye nti entekateeka weeri naye tewabaddewo kulaga nnaku amasomero kweganagulirawo.

Agambye nti obuyinza buli mu mikono gyamukulembeze wagwanga, okugaggulawo kubanga yegagaggalawo olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *