Amawulire

Minisitule erangiridde abalwadde abappya abasoba mu 1,200

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Minisitule yebyobulamu eriko abalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya abasoba mu 1,200 berangiridde nabantu 2 abaafudde.

Ebibalo bino bivudde mu kukebera okwakoleddwa nga 27 Decemba 2021, wabula minisitule era egamba nti wabaddewo okudirira mu miwendo gyabalwadde abali mu malwaliro okudda ku balwadde 69 okuva ku basoba mu 80, nga bwegubadde mu nnaku eziyise.

Uganda okuva mu March 2020 awamu yakafuna abalwadde abasoba mu mitwalo 13 mu 7,000 atenga abantu abasoba mu 3,200 bebakafa, abali mu mitwalo 9 mu 8,000 bebawonye.

Okweyongera kwemiwendo gyabalwadde abappya, kuzze ngakawuka ka Omicron kongedde okutabaala mu bantu.

Abalwadde abappya okusinga bava mu disitulikiti ye Kampala, Wakiso, Mbale, Gulu nendala.