Amawulire

Minisita simusanyufu n’obukwakulizo bwa WHO kunsimbi z’endwadde enkambwe

Minisita simusanyufu n’obukwakulizo bwa WHO kunsimbi z’endwadde enkambwe

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita avunanyizibwa ku by’obulamu Jane Ruth Aceng, yemulugunyiza ku bukwakulizo obwateerwa ekitongole ky’ebyobulamu ekyensi yonna ki WHO kunsimbi z’obuyambi eziweebwa amawanga agatali gamu singa gaba gali mubwetaavu wakati nga wabaluseewo endwadde enkambwe nga Kolera, Covid, Ebola n’endala

Minisita okwogera bino asinzidde Munyonyo mu lukungana lw’ebyobulamu olw’omulundi ogw’okubiri olw’okwefumitiriza kungeri Uganda gyekwatamu ebirwadde ebibalukawo.

Aceng ategezza nti ekitongole kyebyobulamu bwekiteekawo obukwakuliza kunsimbi ezibaweebwa okulwanyisa ebirwadde ebitali bimu wesanga nga amawanga agatatuukiriza bukwakulizo galemererwa okuzifuna ekyongera okunafuya ebyobulamu ebirungi.

Minisita era asabye ebitongole bya gavumenti obutatunulira kitongole kya byabulamu kyokka mu kaseera nga wabaluseewo endwadde wabula balina kukwatira wamu okubirwanyisa.