Amawulire

Minisita Oboth akakasiza nti omusirikale wa UPDF eyasiwuse empiisa wakukangavulwa

Minisita Oboth akakasiza nti omusirikale wa UPDF eyasiwuse empiisa wakukangavulwa

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2022

No comments

Bya Auther Wadero,

Minisita omubeezi owebyokwerinda nebazirwanako, Jacob Oboth Oboth akakasiza ababaka ba palamenti nti akakiiko mu ggye gye ggwanga erya UPDF akanonyereza ku buzzi bwemisango kakunonyereza ku musirikale wabwe eyakutte omusirikale wa poliisi owokuluguudo amataayi.

Olunaku lweggulo mu kibuga kampala, ku mukwano mall wakati mu kalipagano ke bidduka waliwo omusirkale wa UPDF eyasabye bamukolere ekkubo ayite mu jaamu bweyalwisiddwa okumukolera ekkubo yakakanye ku musirikale wa traffic namukwata amataayi ekyaleesowo embeera eyakanyolagana

Bwalabiseeko mu kakiiko ka palamenti akeddembe lyobuntu minisita Oboth atereddwa kunninga omubaka wa Nakaseke Central Allan Mayanja, okunoyolola ebyabadewo.

Mu kwanukula minisita Oboth akkiriza nti yabadde musirikale wabwe wabula nategeeza nga bwebagenda okunonyereza ku byabadewo byonna bwegumusinga wakuvunanibwa.