Amawulire

Minisita Nandutu ayimbuddwa okuva mu nkomyo

Minisita Nandutu ayimbuddwa okuva mu nkomyo

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agnes Nandutu kkooti ewozesa abakenuzi emukkirizza okweyimirirwa.

Omulamuzi Jane Kajuga Okuo, asazeewo okuyimbula Nandutu nga agamba nti abaamweyimiridde abasatu okuli n’omubaka Nandala Mafabi basaanira ate nga yasobola okwetwala yekka ku poliisi oluvanyuma lwokukiteegeerako nti yetaagibwa.

Nandutu ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 10, n’alagirwa okuteeka ebyapa by’ettaka bibiri okutudde amaka ge ku kyalo Seeta Nantabuliri mu Disitulikiti y’e Mukono.

Ate abamweyimiridde balagibwa okusasula akakalu ka kkooti ka obukadde bwensimbi 50 ezitali za buliwo.

Era alagiddwa okuleka paasipooti mu offisi ya Registrar songa awereddwa okutambula ebweru w’eggwanga okutuusa ng’omusango guno guwedde.

Omulamuzi era agobye ebigambibwa oludda oluwaabi nti minisita Nandutu yabula nga tannaba kweyanjula ku Poliisi okumubuuza ebibuuzo.

Ebizibu bya Nandutu byekuusa ku bigambibwa nti yeenyigira mu kubulankanya amabaati agalina okugenda eri abantu be Karamoja.

Asuubirwa okudda mu Kkooti nga May 25th 2023 okuwulira omusango guno