Amawulire

Minisita Nandutu adda leero mu Kkooti

Minisita Nandutu adda leero mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Okuwulira omusango oguvunanibwa minisita omubeezi owensonga ze Karamoja Agnes Nandutu ku bigambibwa nti yómu kubabulankanya amabaati agalina okujuna abawejere be Karamoja kudamu leero mu Kkooti ewozesa abalyake e Kololo.

Omusango guli wansi womulamuzi Jane Kajuga.

Nandutu mu kiseera kino ali ebweru wa kkomera ku kakalu ka kkooti avunaanibwa okweza amabaati 2000 agamu kwago agalina okugenda e Karamoja.

Okuwulira omusango guno olwaleero kugidde mu kiseera nga olunaku lweggulo Nandutu yaddukidde mu kkooti ya ssemateeka ng’ayagala eyimirize okuwozesebwa kwe mu kkooti erwanyisa enguzi Mu mpaaba ye, Nandutu awakanya nti omusango gw’okukola ku bintu ebiteeberezebwa okuba nga bimuvunaanibwa tegulambikidwa bulungi nga ssemateeka bw’alagira.

Era ayagala kkooti efulumye ekiragiro eky’enkalakkalira ekikugira DPP okumuvunaana okutuusa ng’okusaba kwe kuwuliddwa era ne kusalibwawo.

Omwezi oguwedde, munnamawulire ono eyafuuka munnabyabufuzi yavunaanibwa n’asindikibwa mu kkomera e Luzira ku mivuyo gyamabaati gaba Karamoja.