Amawulire

Minisita Namuganza agibwamu obwesige Palamenti

Minisita Namuganza agibwamu obwesige Palamenti

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ababaka ba Palamenti bayisizza ekiteeso ekigyamu obwesige minisita omubeezi ow’ettaka amayumba n’ekukulaakulanya y’ebibuga Persis Namuganza.

Ababaka 356 bawagidde akiteeso kino ate abalala bataano bakiwakanyiza ate abasatu tebalaze webagwa.

Omumyuka wa sipiika abadde akubiriza olukiiko luno akawungeezi ka leero, Thomas Tayebwa, agamba nti agenda kutegeeza pulezidenti ku kiteeso kino mu ssaawa 24 nga bwekirambikiddwa mu mateeka agafuga emirimu gya palamenti.

Bino okubaawo kyadiridde akakiiko akateekebwawo okunonyereza ku minisita, nga kakulemberwa mwine Mpaka, okuwabula palamenti nti minisita agibwemu obwesige era agobwe ku bwa minista ne mu palamenti olwokuyisa olugaayu mu mateeka agafuga palamenti.

Okugya obwesige mu minister kibadde kyetaagisa obululu bwa babaka 265 kyokka buyiseemu oluvanyuma lwa babaka 356 okuwagira agobwe.

Kati ekisigalidde kye kya pulezidenti Museveni okugoba Namuganza kubwa minisita.

Abamu ku babaka ba Palamenti okuli n’omubaka wa munisipaali y’e Kira Ssemujju Nganda bawadde amagezi palamenti erowooze ku ky’okukebera n’enneeyisa ya pulezidenti nga bagamba nti asigala alonda abantu ababeera bagaaniddwa palamenti.

Namuganza avunanibwa okuyisa olugaayu mu palamenti oluvanyuma lwa sipiika Anita Among, okulagira akakiiko akakwasisa empisa kamunonyerezeko ku bigambibwa nti yenyigira mu mivuyo gyettaka mu bitundu bye Nakawa ne Naguru.