Amawulire

Minisita Nabakooba ayimiriza ebyókugobaganya abatuuze 2000 ku ttaka e Gomba

Minisita Nabakooba ayimiriza ebyókugobaganya abatuuze 2000 ku ttaka e Gomba

Ivan Ssenabulya

December 14th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Minisita w’eby’ettaka amayumba n’ebibuga Judith Nabakooba ayimirizza okugobebwa ku ttaka okw’abantu abali eyo mu 2000 okuva ku byaalo 5 mu bitundu by’e Kabulasoke mu district eye Gomba.

Ebyaalo ebyogerwako kuliko ekye Kabulasoke A, Kabulasoke B, Bukundugulu, Lubaale wamu ne Nkandwa nga byonna awamu buwerako hectares 700.

Abatuuze era balumiriza omugagga Sulait Kalungi okwekobaana n’abakulembeze babwe ku byaalo okubawaliriza okwabulira ebibanja byabwe nga tebaliyiriddwa.

Ng’ayogerako eri abatuuze, Minister Nabakooba ategeezezza ng’okusomoozebwa okusinga kati bebantu abagobebwa ku ttaka obutamanya mateeka gakwata ku ttaka kwebatudde.

Minister alagidde Omubaka wa Gavumenti mu kitundu ekyo, okukungaanya ebiwandiiko byonna ebikwata ku ttaka elyo bileetebwe mu Ministry byetegerezebwe bazuule engeri Sulait gyeyalifunamu n’okukakasa obutuufu bwabyo n’oluvanyuma basalewo ekyenkomeredde.

Wabula Kalungi agamba nti ettaka yaligula ku Dick Lutaaya mu 2018 era omulimu gw’okuliyilira abamu ku batuuze abadde yagutandikako dda.