Amawulire

Minisita Nabakooba alabudde Poliisi kunsonga zéttaka

Minisita Nabakooba alabudde Poliisi kunsonga zéttaka

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2021

No comments

Bya Magembe Ssabiiti, 

Minisita w’eby’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Judith Nabakooba alabudde ebitongole ebikuuma ddembe naddala poliisi okukomya ebikolwa ebyokukwatanga abantu nebabaggalira makomera ku nsonga zettaka awatali kusooka kunonyereza.

Minisita Nabakooba okwogera bino abadde mu ggombolola y’e Kiruuma e Kirwanyi abatuuze abasoba mu 1500 gyebaasengulwa omumbejja Milly Naava Namutebi.

Ettaka eliriko okusika omuguwa liri ku Block 60, Plot 1 e Kirwanyi-Buweekula, nga  abatuuze balumirizza Omumbejja Milly Naava Namutebi okozesa abanene mu magye  ne poliisi okubasengula ku Bibanja byabwe  kyokka nga ettaka kwebatuudde nategezezza nga bweri elya public land.

Minisita Judith Nabakooba alagidde abantu bonna abajjibwa ku ttaka elimanyiddwa nga erya Public Land okuddayo mu Bibanja byabwe balime era nga wano alabudde police obutaddayo kwata Bantu nga ebagulako emisango egitali mateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *