Amawulire

Minisita Mutende afudde

Minisita Mutende afudde

Ali Mivule

October 3rd, 2015

No comments

File Photo:Minisita James Mutende ngali ko byawandiika

File Photo:Minisita James Mutende ngali ko byawandiika

Minister Omubeezi avunanyizibwa ku byobusuubuzi James Mutende afudde.

Ono asangiddwa mu buliri bwe nga mufu ku makya ga leero  mu maka ge e Makindye.

Omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa okutegeera ekituufu ekimusse.

Minisita Mutende yabadde bba w’omukungu wa Uganda mu maggye ga Amisom mu ggwanga lya Somalia Lydia Wanyoto.

Okufa kwa Mutende kuzze nga wakayita wiiki 3 nga minisita omulala Aronda Nyakayirima naye avudde mu bulamu bw’ensi eno.

Ye omubaka we Bubuulo mu buvanjuba Simon Mulongo asabye wabeerewo okunonyereza okw’enjawulo ku kufa kwa minisita Muntende.

Mulondo agambye nti yakomye okwongera ne minister Mutende olunaku lw’eggulo mu parliament ngali mu mbeera nungi.

Mutende yazaalibwa nga  26 omwezi gw’okubiri mu 1962  e Mbale  era nga yasomera  Busoga College Mwiri, gyeyava okwegatta ku ntendekero ekkulu e Makerere mu mwaka gwa 1984, gyeyakugukira mu kujanjaba ebisolo, mu mwaka gwa 1999 yakuguka mu byenfuna ku e Makerere ate mu mwaka gwa 2005 yafuna dokitoleti okuva mu kibuga Newyork mu ggwanga lya America.

Mu mwaka gwa 2011 yafulibwa minister omubeezi ow’ebyobusubuzi era ngayadde mu bigere bya Father Simon Lokodo eyafulibwa minister w’empisa n’obuntu bulamu.