Amawulire

Minisita Muhwezi akakkasiza nti tewali butujju bwonna mu ggwanga

Minisita Muhwezi akakkasiza nti tewali butujju bwonna mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisita w’ebyokwerinda Maj Gen Jim Muhwezi akkakkanyizza eggwanga ku bulumbaganyi bwonna obw’ekitujju ku ggwanga.

Kino kiddiridde omubaka wa palamenti, Atkins Katushabe okwemulugunya ku bulumbaganyi obweyongedde ku bifo eby’okwerinda okugeza ebifo bya poliisi n’obulumbaganyi obwakolebwa gyebuvuddeko mu bbaalakisi ya Gaddafi e Jinja

Mu bulumbaganyi bwa Barracks ekibinja ky’abamenyi b’amateeka abatannamanyika balumba enkambi ya Gaddafi ne batta omujaasi eyali akuuma ku kikomera eyategeerekese nga Sergeant Simon Peter Eyagu.

Bwabadde ayanukula okweraliikirira kuno , minisita awadde obukakafu nti tewali bulabe bwonna eri eggwanga, n’ategeeza nti ensonga eno enoonyezebwa nga asuubiza alipoota enzijuvu mu bbanga eritali ly’ewala  kunsonga eno.