Amawulire

Minisita Mao avumiridde abagala okulemesa omukago gwa IPOD okubaawo

Minisita Mao avumiridde abagala okulemesa omukago gwa IPOD okubaawo

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita w’ebyamateeka, Nobert Mao avumiridde eky’okulemesa ensimbi eziweebwa ebibiina ebiri mu mukago omwegatira ebibiina byobufuzi ebirina abakiise mu palamenti, ogwa Inter Party Organization for Dialogue (IPOD).

Ebigambo bye biddiridde okwekalakaasa okuzze kukolebwa abawagizi b’ekibiina National Unity Platform (NUP) mu mawanga agebweru, nga balumiriza nti ekitongole kya Netherlands Institute for Multi-party Democracy (NIMD) ekiwagira IPOD tekirimu bantu bonna.

Okusinziira ku dayirekita wa NIMD, era nga ye ssaabawandiisi wa IPOD, Frank Rusa, okwekalakaasa kuno kuvuddeko okukubaganya ebirowoozo mu gavumenti ya Budaaki nga balowooza nti IPOD teyawa ba NUP,mukisa kwegata ku IPOD songa kye ky’ebyobufuzi ekisinga obunene mu Uganda.

Agamba nti kino kiteeka mu matigga okubeerawo kwa IPOD oluvanyuma lwa bagabi bobuyambi okulaba obulala ensonga eno.

Kati Mao, avumiridde kyayise ebyobufuzi ebya layisi asabye, abawagizi ba NUP abali mu ebweru weggwanga okwettanira okuteesa okusobola okutuuka ku nfuga ennungi.