Amawulire

Minisita Lugoloobi ayimbuddwa okuva mu Nkomyo

Minisita Lugoloobi ayimbuddwa okuva mu Nkomyo

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, nókuteekerateekera eggwanga, Amos Logolobi ayimbuddwa okuva mu kkomera ku kakalu ka kkooti ka obukadde bwa sillingi 10.

Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake Ebert Asiimwe yamuyimbudde ku misango egyekuusa kukugabana amabaati agalina okugenda eri abatuuze be Karamoja abataliiko mwasirizi.

Ono alagiddwa okuleka paasipooti ye mu kkooti, obutagenda bweru wa ggwanga nga Kkooti tetegedde, okuleka ekyapa kye eky’amakaage agasangibwa e Makindye nóbutagezako okuyingirira okunoonyereza.

Omulamuzi era alagidde buli omu ku bamweyimiridde 6 okusasula obukadde 100 ebwensimbi za Uganda ezitali zabuliwo.

Ku bano kubaddeko omubaka wa EALA James Kakooza , Omubaka omukyala Namutumba, Mariam Naigaga , Dr. Kefa Kiwanuka ; omubaka wa Kiboga East , Best man we Dr. Paul Charles Mugamba era eyali omubaka wa Uganda mu Brazil na balala

Omulamuzi era okweyimirirwa kwe yeesigamye ku bbaluwa evudde ewa ssentebe wa LC1, Kizungu Zooni e Makindye ng’eraga nti minisita mutuuze mulungi agondera amateeka nga talina misango gyeyali azizza.

Oludda oluwaabi lugamba nti minisita ono era nga ye mubaka wa Ntejeru North wakati wa July 2022 ne February 2023 nga asinziira ku yafeesi ya ssabaminisita e Namanve mu disitulikiti yatwala abamaati 700 agaliko obubonero obulaga nti gagavumenti agaalina okuweebwa abatuuze be Karamoja abali mumbeera embi.

Ono alagiddwa okudda mu Kkooti nga June 2nd 2023 okwongera okuwulira omusango gwe.