Amawulire

Minisita Kitutu asindikibwa mu Kkomera e Luzira

Minisita Kitutu asindikibwa mu Kkomera e Luzira

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja era nga ye mukyala omubaka akikirira abé abalonzi mu disitulikiti yé Manafwa, Marry Gorreti Kitutu, asindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwa kubulankanya buyambi obwalina okuweebwa abawejere abali e Karamoja.

Kitutu ne mugandawe Michael Kitutu Naboya balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Joan Aciro ne beegaana emisango egibasomeddwa.

Ababiri bano bavunaanwa wamu ne Joshua Abaho omuyambi wa minisita atabadde mu Kkooti leero.

Bano bavunaaniddwa emisango mukaaga okuli; Okubuzaawo ebintu bya gavumenti, obuli bw’enguzi, okufuna ebintu ebibbe n’okwekobaana okufera.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, abasatu bano  wakati wa June 2022 ne January 2023 nga basinzira ku ofiisi ya Ssaabaminisita e Namanve babulankanya amabaati 9000 gebalina okusindika mu bitundu bye Karamoja okujuna abawejjere ate ne bagakyusa ne bagegabanya na banene mu gavumenti.

Kigambibwa nti minisita ono ng’ali wamu n’omuwandiisiwe wakati era bafiiriza gavumenti amabaati 5,500 era gebalina okutwala e karamoka ne gatagendayo.

Omulamuzi Joan Aciro amusindise mu kkomera e Luzira, gyaba aliira olunaku lwa Ppaasika wabula wetugidde ku mpewo nga bannamateekabe bakyagezako okusaba omulamuzi minisita amuyimbule ku kakalu ka kkooti ngókunonyereza bwekugenda mu maaso.

Wabula omulamuzi agannye okusaba kuno minisita nalagibwa yebake mukomera e Luziro okutuusa ngennaku zomwezi 12 omwezi guno lwalidda mu kkooti okwongera okuwulira omusango gwe.