Amawulire

Minisita Kitutu asimbiddwa mu Kkooti ewozesa abalyake ku byámabaati gé Karamoja

Minisita Kitutu asimbiddwa mu Kkooti ewozesa abalyake ku byámabaati gé Karamoja

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja era nga ye mukyala omubaka akikirira abé abalonzi mu disitulikiti yé Manafwa, Marry Gorreti Kitutu, asimbiddwa mu kkooti ewozesa abali bénguzi e Kololo olw’okukwata obubi obuyambi obwalina okugenda eri abatuuze b’e Karamoja.

Kitutu ne mugandawe Michael Kitutu Naboya balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Joan Aciro ne beegaana emisango egibasomeddwa.

Ababiri bano bavunaanwa wamu ne Joshua Abaho omuyambi wa minisita atabadde mu Kkooti leero.

Bano bavunaaniddwa emisango mukaaga okuli; Okubuzaawo ebintu bya gavumenti, obuli bw’enguzi, okufuna ebintu ebibbe n’okwekobaana okufera.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, abasatu bano  wakati wa June 2022 ne January 2023 nga basinzira ku ofiisi ya Ssaabaminisita e Namanve babulankanya amabaati 9000 gebalina okusindika mu bitundu bye Karamoja okujuna abawejjere ate ne bagakyusa ne bagegabanya na banene mu gavumenti.

Kigambibwa nti minisita ono ng’ali wamu n’omuwandiisiwe wakati wa June 2022 ne January 2023 era bafiiriza gavumenti amabaati 5,500 era gebalina okutwala e karamoka ne gatagendayo.

Kati minisita asaba ayimbulwe ku kakalu ka kkooti nga bwe balindirira okunoonyereza.