Amawulire

Minisita Katumba yenyamidde olw’ebikolwa eby’obutujju

Minisita Katumba yenyamidde olw’ebikolwa eby’obutujju

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2023

No comments

Bya Diphas Kiguli,

Minisita w’ebyenguddo n’entambula mu ggwanga Gen. Edward Katumba Wamala alaze okunyolwa olw’ebikolwa ebyekko ebigenze mu maaso mu ggwanga mu bitundu eby’enjawulo era nasaba abaddu ba Allah okusabira ennyo eggwanga emirembe gyeyongere okubukala.

Gen. Katumba asinzidde ku muzikiti omukulu e Mukono ogwa Masjid Atik, ogusangibwa mu kibuuga Mukono naasaasira abantu be Kasese ku bikolwa eby’obutujju ebyabakolebwako era nalaga okunyolwa olw’obulumbagannyi bw’ettemu obwakoleddwa ku bantu e Masaka.

Ono asabye abantu obutakakatika bikolwa bya kitujju ku nzikiriza y’obuyisiraamu nagamba nti gubeera mutima gwa muntu nga gwemukyaafu.

Ono era agenze mu maaso nasaba abasiraamu be Mukono okulwanyisa enjawukana naddala ezeyongedde nga kino kyabavirako nókufumuula eyali district khadi Sheikh Shazir Lumala.

District Khadi wa Mukono omugya, Sheikh Abbas Ssenkuba asinzidde mu kusaala Eid Adhuha ku muzikiti gwegumu nalopeera Gen. Katumba nti obusiwuufu bw’empiisa bweyongedde nnyo mu bavubuuka nga watekeddwa okuberawo ekikolebwa nga begase wamu ne gavumenti.